Job 18:5-21


5 a“Ddala etabaaza y’omukozi w’ebibi ezikidde,
era n’omuliro gw’ekyoto kye tegukyayaka.
6Ekitangaala kivudde mu weema ye;
n’ettaala eri ku mabbali ge nayo ezikidde.
7 bAmaanyi gamuwedde, ebigere bye tebikyali bya maanyi,
era enkwe ze, ze zimusuula.
8 cEky’amazima ebigere bye byamusuula mu kitimba
era n’atangatanga mu butimba.
9Omutego gumukwata ekisinziiro;
akamasu ne kamunyweeza.
10Omuguwa gumukwekerwa mu ttaka;
akatego kamulindirira mu kkubo lye.
11 dEntiisa emukanga enjuuyi zonna
era n’emugoba kigere ku kigere.
12 eEmitawaana gimwesunga;
ekikangabwa kirindiridde okugwa kwe.
13 fKirya ebitundu by’olususu lwe;
omubereberye wa walumbe amulyako emikono n’ebigere.
14 gAggyibwa mu bukuumi bwa weema ye
era n’atwalibwa eri kabaka w’ebikangabwa.
15 hOmuliro gumalirawo ddala byonna eby’omu weema ye;
ekibiriiti kyakira mu kifo mw’abeera.
16 iEmirandira gye gikala wansi,
n’amatabi ge gakala waggulu.
17 jEkijjukizo kye kibula ku nsi;
talina linnya mu nsi.
18 kAgobebwa okuva mu kitangaala, agenda mu kizikiza
n’aggyibwa mu nsi.
19 lTalina mwana wadde omuzzukulu mu bantu be,
newaakubadde ekifo mwabeera.
20 mAbantu ab’ebugwanjuba beewuunya ebyamutuukako;
n’ab’ebuvanjuba ne bakwatibwa ekikangabwa.
21 nDdala bw’etyo bw’ebeera ennyumba y’omukozi w’ebibi;
bwe gaba bwe gatyo amaka g’oyo atamanyi Katonda.”
Copyright information for LugEEEE